Amawulire

Mufeeyo okumanya enkyukakyuka mubyentambula-UCAA

Mufeeyo okumanya enkyukakyuka mubyentambula-UCAA

Ivan Ssenabulya

December 27th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Ekitongole kyentambula yomubbanga, Uganda Civil Aviation Authority bawabudde abatambuze okusigala nga bekumira mu kumanya, ku nnambika yebyentambula nga tebanatambula.

Wabaddewo entambula ze nnyonyi ezasaziddwmu, mugandaalo erya ssabiiti, olwakawuka ka Omicron nga kyagotanyizza abantu bangi.

Okusunziira ku bibalo okuva ku mukutu gwa FlightAware data, entambula ze nnyonyi 5,900 zezasaziddwamu ku ssekukulu.

Omwogezi wekitongole Vianney Luggya agambye nti waddenga tebanaksebwa mu mbeera eno, bali bulindaala ku kyonna ekiyinza okuberawo.