Amawulire

Mudde ku Mirimu- Gavumenti eragidde aba KCCA

Ali Mivule

November 29th, 2013

No comments

Frank Tumwebaze

Minister wa Kampala Frank Tumwebaze alagidde ekitongole kya Kcca okuddamu okukakkalabya emirimu gyaakyo.

Kino kiddiridde akulira abakozi mu  KCCA Jennifer Musisi okuyimiriza emirimu gy’ekitongole, ng’agamba nti abakozi ba KCCA babadde batulugunyizibwa abawagizi ba Lukwago.

Frank Tumwebaze agambye nti bamaze okufuna obukuumi obumala eri abakozi ba KCCA.

Ye Ssabawolereza wa Government Peter Nyombi asisinzidde mu lukungaana lwerumu, nategeeza nti ekyasaliddwaawo omulamuzi Yasin Nyanzi, okuzza Lukwago mu Office bwe kimenya amateeka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *