Amawulire

Mu kole dduyiro mukuume emibiri- Museveni

Mu kole dduyiro mukuume emibiri- Museveni

Ivan Ssenabulya

July 14th, 2019

No comments

Bya Moses Ndaye, Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni agugumbudde abasawo olw’obutaba na bukugu bumala kunyonyola bannauganda kubivaako endwadde ezitasigibwa.

Museveni agamba nti abasawo balina okudamu okutendekebwa okusobola okufuna obukugu kungeri gye bayinza okusomesamu bannauganda kungeri y’okwewalamu endwadde ezitasigibwa ezeyongedde okusubuwa abantu.

Abantu ebitundu 40% abafa ensangi zino bafa ndwandde zino nga ku bano 9% bafa ndwadde ya mutima, 5% bafa kokolo, 3% bafa kirwadde kya sukaali ate 10% bafa ndwadde ndala.

Museveni, bino abyogeredde kololo mu kukuza olunaku lw’okukola dduyiro olukuzibwa buli Sunday ey’okubiri mu mwezi gwa kasambula.

Ono yaabadde omutambuzi omukulu era nga atambudde kulo meter 10 okuva kololo ne yetoloola ebitundu bya kampala ku bigere.

Pulezidenti asabye bannauganda okufaayo eri emibiri gyabwe nga bagikuuma nga miramu bulungi