Amawulire

Mpuuga mwenyamivu olwémbeera ya Ssegirinya okwongera okwononeka

Mpuuga mwenyamivu olwémbeera ya Ssegirinya okwongera okwononeka

Ivan Ssenabulya

November 2nd, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti, Mathius Mpuuga alaze obwenyamivu ku mbeera omubaka wa Kawempe North Mohammed Ssegirinya gyayitamu mu kiseera kino.

Bino abyogedde ayogerako eri palamenti akawungeezi ka leero, Mpuuga agambye nti ssegirinya yadde yagibwa mu kkomera natwalibwa okufuna obujanjabi embeera yóbulamu bwe yeyongera kuba bubi

Asabye sipiika okubaako kyakola okulaba nti ssegirinya ataasibwa yadde nga atwalibwa ngomusibe mu budde buno.

Mu kumwanukula Anita Among agambye nti palamenti terina kyesobola kukola okutuusa ngerina kyewulidde okuva mu gavt

Wabula ssabaminisita Robinah Nabanja, awabudde nti kyetaaga amyuka sipiika nákulira oludda oluvuganya okusooka okukyalira ku ssegirinya balabe ekidako

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *