Amawulire

MOH eri mu kunonyereza ku byómwana agambibwa okukosebwa nga agemeddwa Covid

MOH eri mu kunonyereza ku byómwana agambibwa okukosebwa nga agemeddwa Covid

Ivan Ssenabulya

June 13th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Minisitule eye byobulamu eri mu kunonyereza ku byómwana agambibwa okuba nti yagemebwa ekirwadde kya covid ku SSomero nayononeka ebitundu bye ebyomunda.

Kigambibwa nti Jonah Luyinda nga muyizi ku ssomero lya St Martin Janya secondary school mu disitulikiti yé Mpigi yagemebwa ne banne ku ssomero kunkomerero yomwezi ogwokubiri bbo ne bafuna okukosefu obutonotono ate ye nayisibwa bubi

Jasper Nsubuga ngóno muganda wa Jonah abuulidde bannamawulire nti oluvanyuma lwomwana okugemebwa yazimba omubiri gwonna abakulu bessomero ne balowoza nti agyakutereera mangu era tebasooka ku buulira bazadde ba mwana wabula oluvanyuma bategezebwa natwalibwa mu ddwaliro e Rubaga mu ddwaliro ne babalagira okumwongerayo e Kirunddu gyali kati mu ICU.

Abasawo bakakasa nti omwana ensigoye ndwadde, omutima námawugwege nabyo byafuna obuzibu yadde nga tebakakasa nti kyava kuddagala eryamukubwa.

Wabula omwogezi wa minisitule eye byobulamu Emmanuel Ainebyonna, atubuulidde nti amawulire ga Luyinda bagawulirako wabula nga balina kunonyereza bazuule oba ddala kyava ku ddagala eryamukubwa oba nedda