Amawulire

Minisitule yebyenguudo yeddizza okuwandiika ebidduka

Minisitule yebyenguudo yeddizza okuwandiika ebidduka

Ivan Ssenabulya

November 3rd, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ministule yebyenguudo nentambula, okutandika nolwaleero beddizza omulimu gwokuwandisanga ebidduka, omulimu ogubaddenga gukolebwa ekitongole kya Uganda Revenue Authority.

Ekitongole kya URA kyekibadde kikola omulim gwokuwandiika emmotoka okumala emyaka 30 nokugaba namba puleti.

Enkyukakyuka zino zajjira mu tteeka erya traffic and Road safety act, eryayisibwa palamenti gyebuvuddeko.

Bwabadde ayogerera ku mukolo bwebabadde bakwsibwa obuyinza, minisita webyentambula Gen Katumba Wamala agambye nti kigendereddwamu kulongoosa mirimu nentambula nokutekaow obutbenkevu ku luguudo.

Minisita era alaze nessuubi mu ntekateeka, yokuteeka obuuma obwa traking mu mmotoka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *