Amawulire

Minisitule eyébyénjigiriza efulumiza ebinagobererwa ngámasomero gagguddwa

Minisitule eyébyénjigiriza efulumiza ebinagobererwa ngámasomero gagguddwa

Ivan Ssenabulya

September 9th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Minisitule eye byenjigiriza nébyemizannyo evudeyo nenteekateeka enegobererwa singa amasomero ganagulawo.

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire mu Kampala omwogezi wa minisitule eno Dr Dennis Mugimba agambye nti bavudeyo nentekateeka eno nga bwebalinda omukulembeze weggwanga okuvaayo nennaku entuufu abayizi kwebanadira mu masomero.

Mugimba, anyonyodde nti munsisinkano gyebabademu ne pulezidenti kuntandikwa ya ssabiiti eno baamutegeeza nti amasomero galigudewo mu mwezi ogujja mu mitendera nga bwekyali mu muyaga ogwasooka ogwekirwadde kya covid-19.

Ono agamba nti mu kugulawo amasomero okulungi Bagala abayizi ku mulundi guno basome nnaku nakku nga okugeza aba P1,P2, ne P3 bwebagya ku bbalaza ne lwokubiri ate nga abebibiina ebirala basoma kunnaku endala.

Minisitule era egamba nti ku mulundi guno abayizi tebagendanga kusoma bbanga mpavu nga bwegwali nga ekirwadde tekinazinda ggwanga, taamu zakuba nyimpi

Mugimba era agambye nti ne kaliculamu bagenda gifunza balondemu ebintu ebikulu byonna byebaba basomesa abayizi.

Wabula kinajukirwa nti abakulu mu minisitule na bakakiiko akalwanyisa ekirwadde kya covid bwebatuula ne Museveni yagaana ekyabayizi okudda ku somero mu mwezi ogujja nga agamba nti waliwo bingi bye balina okusooka okwetegereza.