Amawulire

Minisitule ewagidde eky’okugaana abayizi abatali bageme

Minisitule ewagidde eky’okugaana abayizi abatali bageme

Ivan Ssenabulya

November 2nd, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye ne Ritah Kemigisa

Minisitule yebyenjigiriza nemizannyo, evuddeyo nenyonyola nga bawagira ekyakoleddwa zzi univasite namatendekero aga waggulu abagaanye abayizi abatali bageme, okusoma.

Olunnaku lweggulo, amatendekero gano lwegaguddeewo, wabula e Kyambogo, Kampala University, Uganda College of Commerce e Tororo, National Teachers College Kabale nabalala, tebaganyizza bayizi abatali bageme okuyingira.

Kati omwogezi wa minisitule yebyenjigiriza nemizannyo Dr Denis Mugimba agambye nti baakirizza amatendekero okukikola, bakirize abayizi nabasomesa abageme bokka, mu ntekateeka ejja okuyamba okulwnayisa ssenyiga omukambwe.

Agambye nti abayizi abemyaka 18 baalina okugmebwa mu bitundu byabwe, er basaanye okujjumbira.

Mungeri yeemu, ekitongole kyeddagala mu gwanga, National Drug Authority oba NDA nabo bayisizza ekiragiro ng bayimiriza abakozi bonna abatali bageme COVID-19 nabagenyi abatali bageme obutaddamu kweyanjula ku wofiisi zaabwe.

Ekiwandiiko kino kifulumiziddwa Abiaz Rwamwiri, omukulu mu NDA ngagambye nti ekiragiro kigenda kutandika okukola nga 15 Novemba ngabatali bageme kijja kubetagisa ebiwandiiko ebyavudde mu kubakebera mu 72 emabega.

Rwamwiri agambye nti kino kigendereddwamu okulwanyisa okusasaana kwa ssenyiga omukambwe.

Ebitongole ebirala nga National Medical Stores, palamenti ne minisitule yebyobulamu nabo baali bayisa dda ekiragiro kino.

Wabula abalwanirizi beddembe lyobuntu mu nsonga zebyobulamu bavumiridde ebiragiro ebizze biyisibwa ebitongole bya gavumenti, nga basindikiriza abakozi nabantu babulijjo abatali bageme.

Akulira ekitongole kya Center for Health, Human Rights and Development (CEHURD) Moses Mulumba agambye nti kino kimenya amateeka era kutyoboola ddembe lyabuntu.

Mulumba agambye nti ekisaanye okukolebwa byebitongole bya gavumenti okutandika kawefube wokumanyisa abantu nabakozi baabwe ku bukulu bwokugemebwa.

Okugema ssenyiga omukambwe, kwatandika mu Uganda nga 10 mu March womwaka guno wabula ngojeeko okuba nti eddagala libadde ttono naye nabajumbidde bakyali batono.