Amawulire

Minisitule etubidde ne Paaasipoota omutwalo 1 n’ekitundu

Minisitule etubidde ne Paaasipoota omutwalo 1 n’ekitundu

Ivan Ssenabulya

December 27th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Passporta eziri mu mutwalo 1 mu 5,000 zezitubidde ku minisi, bannayini zo tebanagenda kuzijjayo.

Kino kibikuddwa omwogezi wa minisitule yensonga zomunda mu gwanga Jacob Siminyu, nga kino akitadde ku kweyongera mu miwendo gyabasaba abappya.

Agambye nti wabaddewo nokweyongera mu miwendo gya passporta zebafulumya buli lunnaku okuva ku 1500 kankano okudda ku passporta wakawti we 2400 ne 2500 buli olukedde.

Wabula alina essuubi nti January 2022 wanatukira, ngomuwendo gwa passporta zebatubidde nazo, gukendedde.