Amawulire

Minisitule esambaze ebyókugula amasomero mu Ssabiiti 2

Minisitule esambaze ebyókugula amasomero mu Ssabiiti 2

Ivan Ssenabulya

September 2nd, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Minisitule yebyenjigiriza nemizannyo, evuddeyo okusambajja amawulire agayitingana, agakwata ku kuggulawo amasomero.

Amawulire mu mpapula galaze nti, amasomero gagenda kuggulawo, mu wiiki 2.

Bano babadde balina abakungu bebesigamyeko okuva mu minisitule yebyenjigiriza, nga bagambye nti bagenda kutandika ne P1 okutuuka ku P3 nabayizi aba S1 ne S2.

Kati bwabadde ayogera ne bannamwulire mu Kampala, omwogezi wa minisitule Denis Mugimba, agambye nti entekateeka weeri naye tewabaddewo kulaga nnaku amasomero kweganagulirawo.

Agambye nti obuyinza buli mu mikono gyamukulembeze wagwanga, okugaggulawo kubanga yegagaggalawo olwekirwadde kya ssenyiga omukambwe.