Amawulire

Minisitule erabudde amasomero ku kukebera abayizi okw’obuwaze

Minisitule erabudde amasomero ku kukebera abayizi okw’obuwaze

Ivan Ssenabulya

January 12th, 2022

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Minisitule yebyenjigiriza nemizannyo erabudde, nti baakukangavvula amasomero gonna abanajeema ku kyokukeberanga abayizi ssenyiga omukambwe, okw’obuwaze.

Kino minisitule yakiwakanyizza, nti tebalina kuyingiza bayizi nga babakebedde ku buwaze.

Minisita owebyenjigiriza ebisokerwako Dr Joyce Kaducu ayise ku mukutu gwe ogwa twitter, nagamba nti bakitegeddeko nti waliwo amasomero agakaka abazadde okukebera abaana baabwe.

Agambye nti ekitekeddwa okukolebwa gemasomero okutekawo embeera eyokugoberera, amateeka nebiragiro byokutangira obulwadde.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *