Amawulire

Minisita Nabbanja agamba waliwo abagala okumutta

Minisita Nabbanja agamba waliwo abagala okumutta

Ivan Ssenabulya

July 24th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye

Ssabaminisita Robinah Nabbanja agamba nti obulamubwe buli mu matiga oluvanyuma lwokufuna obubaka obumutiisatiisa okwalaga okumugya munsi lwankola gyakolamu emirimu gye.

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire oluvanyuma lwensisinkano gayabaddemu nákabondo ka babaka abava mu bitundu bya Bunyoro, Ssabaminisita agambye nti yewunyiza mwanyinna abeera e Kakumiro okumutegeeza nti waliwo omuntu eyavuze okuva e Kampala paka  Kakumiro namutegeeza alabule Nabbanja okuva mu kubbo lyabwe.

Ku ntandikwa ya ssabiiti eno Nabbanja aliko ebintu byobuyambi byeyagaana okutongoza oluvanyuma lwokukizuula nti byali bya mutindo mubi.

Muno mwalimu Bulangiti, Obutimba bwensiri, Ebijanjalo, ne birala ebyali biguliddwa minisitule eyébiggwa bitalaze okudukirira abantu bé Kasese abakosebwa námataba.

Ssabaminisita Nabbanja agamba nti ensonga eno siwakugikwata mpola wakugitegeezako ne mukamawe kuba ye kyayagala kwekuweereza eggwanga mu bwesimbu.

Eranga yawandikidde dda nomuteesiteesi omukulu owa minisitule eno okuzuula abagula ebintu bino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *