Amawulire

Minisita alabudde abasawo abakyayiga

Minisita alabudde abasawo abakyayiga

Ivan Ssenabulya

December 14th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Minisita webyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng alagidde abasawo abakyali mu kutendekebwa, abediima begobe ku mirimu oba bakole, kubanga bebagenda okufiirwa.

Agambye nti basaanye bave ku malwaliro ga kubanga tebakyalina kyebakola.

Akulira ebyobujanjabi mu minisitule yebyobulamu Dr Henry Mwebesa yalagidde abasawo bano abali mu 500, okwamuka amalwaliro ga gavumenti basobole okuleeta abalala batandike okukola ngomwaka gutandika.

Mwebesa era yabalagidde babeeko engeri endala gyebanamaliririzaamu emisomo gyabwe.

Bweyabadde ayogerera ku mukolo kweyatongolezza okugema ssenyiga omukambwe okwayongeddwamu amaanyi mu Bugwanjuba bwa Uganda, omukolo ogwabadde e Mbarara, Aceng yagambye mti internship kubeera kugezesebwa naye obeera notaweebwa mulimu.

Yagambye nti okusalawo kuli gyebali, wabula yabawabudde nti bakomye okweyisa mungeri etagwanidde.

Mungeri yeemu, minisita Dr Jane Ruth Aceng agambye nti tanaterebuka, olwabasawo abakugu abasazeewo okwegatta ku kadiimo ka banaabwe.

Olunnaku olweggulo abasawo abakugu abayongerako obuyigereze, nga bakyali mu kutendekebwa e Makerere basazeewo nabo okuwagira banaabwe.

Bano babanja gavumenti etukirize ebisubizo byezze ekola gyebali, okubongeza omusaala, okulongoosa embeera gyebakoleramu nebirala.

Yye minisita webyobulamu mu gavumenti eyekisikirize Timothy Batuwa alabudde gavumenti ku kyokugoba abasawo abakyali mu kutendekebwa, olwokwediima.

Batuwa nga ye mubaka wa Jinja West atenga mukugu mubyeddagala, agambye nti kino kinaaba kikyamu.

Bwo obukulembeze bwasawo abakyayiga, Federation of Uganda Medical Interns basazeewo nti akediimo kaabwe kaakugenda mu maaso.