Amawulire

Min Aceng atereddwa kunninga kunsasanya yénsimbi za Covid

Min Aceng atereddwa kunninga kunsasanya yénsimbi za Covid

Ivan Ssenabulya

August 4th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Minisita ow’eby’obulamu asabiddwa okuvaayo atangaze ku birumira mu alipoota ye gyeyakasomera palamenti ekwata kunsimbi ze bakozeseza okulwanyisa ekirwadde kya covid-19

Kino kidiridde akakiiko ka palamenti akatekebwawo okulondoola butya gavt gye kutemu ensonga zokulwanyisa ekirwadde okukizuula nti emiwendo egyabaweebwa minisita kunsimbi ze bakozesa okugula masiki ne birala tegikwatagana

Bweyabadde ayanja ebimu bye bazudde mu kunonyereza kwabwe omubaka Dickison Kateshumbwa yategezeza nti minisitule ye byobulamu mu mbalirira gyeyabawa eyomwaka gwe byensimbi 2Ol9-20, balaga nti basasanya obuwumbi bwensimbi za Uganda 92.4 newafikawo akawumbi l.7 wabula mu kwetegereza ate akakiiko kazuula nti empapula ezabaweebwa kwaliko obuwumbi bwensimbi 99 nti zezakozesebwa

Akakiiko era kazuuudde nti minisitule etankana omuwendo gwa masiki ezagulibwa ne zagabwa ne nsimbi ezakozesebwa mu mulimo guno

Gavt yakola embalirira yakugula masiki obukadde 36.7 okugabwa mu disitulikiti 135 mu kawefube wokutangira okusasaana kwekirwadde.