Amawulire
Meeya w’Entebbe afunye akabenje
Bya Ivan Ssenabulya
Mayor wa munispaali ye Entebbe Vincent Kayanja Dipo tali mu mbeera nnungi, era agenda kutwalibwa mu ddwaliro lya Kampala hospital okumujja mu ddwaliro lya Entebbe Grade B gyeyasoose okutwalibwa.
Kino kidiridde ono okufuna akabenje ku luguudo lwa Entebbe express highway nga wakava, mu Kabuga ke Katabi.
Ssabawandiisi wa DP Gerald Siranda, atubuliidde nti, ono waali yetaaga ssaala.
Kigambibwa nti mmotoka ye efunye obuzibu, negwa ekigwo era nabazungu babadde nabo nebakosebwa, bali mu ddwaliro.