Amawulire

Meeya ayise olukiiko ku Taxi

Ali Mivule

April 23rd, 2013

No comments

Lord mayor

Kyadaaki loodi mayor wa kampala saalongo Erias Lukwago ayise olukiiko lwabakansala olwokuna luno.

Ensonga eri ku mwanjo yeyokuteesa ku nsimbi meka aba tax zebalina okusasula eri KCCA buli mwezi oluvanyuma lwakooti okuyimiriza okusasila emitwaalo 12 .

Lukwago agamba alina esuubi nti baakutuuka kunzikirizignaya ku sente meka avatax bano zebalina okusasula.

Lukwago yamaze dda okuweereza ebaluwa eri bakansala bonna , ababaka ba palament abava mu kamapala, nga kwotadde nakulira ekibuga Jeniffer Musisis Semakula.