Amawulire

Matembe ayambalidde Gavt mu kuwuwutanya ensimbi zókulwanyisa Covid

Matembe ayambalidde Gavt mu kuwuwutanya ensimbi zókulwanyisa Covid

Ivan Ssenabulya

August 14th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye

Eyaliko minister w’empisa n’obuntu bulamu, Miria Matembe, alaze obweralikirivu kungeri Uganda gyekutemu ekirwadde kya Covid-19 wakati mu bubbi obuyitiridde nti abusabusa ng’oba ddala kisobola okuwona mu Uganda olw’obukenuzi obuyitiride.

Matembe okutuuka kubino abadde wakiso ne kitongole kya Wakiso district Human Rights Commission, mukawefube wokuzawo obutonde bwensi nga basimba emiti , Matembe asinziide wano nalaga nga bweyewuunya abantu mu gavumenti bwebakakana ku nsimbi ezawebwaayo okuyamba ku kulwanyisa ssennyiga omukambwe ne bazezza.

Matembe nga kakano munakibiina kya CCEDDU, abawomye omutwe ku kubunyisa enjiri mukulwanirira obutonde bwensi, era wano alabudde abantu abakuze mumyaka obutafaayo mu kukuuma obutonde bwensi nagamba nti ezzadde lyabwe lyerijja okukaaba.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *