Amawulire
Masaka ewabidde gavumenti
Bya Damalie Mukhaye
Abakulembeze mu district ye Masaka bawawabidde gavumenti eya wakati, olwokusuula okusaba kwabwe okubasumusa nabo okudda ku mutendera gwekibuga.
Kino kidiridde olukiiko lwaba minister okuyisa ebibutundu 5 okudda ku mutenedra gwebibuga oba city okuli Arua, Gulu, Jinja, Fort Portal, ne Mbarara.
Ebibuga bino byakutandika okukola mu mwetoloolo ogusooka, nga July 1, 2020 atenga Hoima ne Mbale byakutandika mu 2021 songa Masaka baajireka ebbali.
Okusinziira ku mpaaba gyebatadde mu kooti, sssentebbe wa district ye Masaka Jude Mbabaali awawabidde ministaowa gavumenti ezebitundu Tom Butima ne ssabawoereza wa gavumenti.
Agambye nti baatukiriza byonna ebyetagisa naye nebabasuula.
Omusango guno bagututte mu kooti enkulu e Masaka.