Amawulire

Mandela Afudde

Mandela Afudde

Ali Mivule

December 6th, 2013

No comments

Mandela gone

Ensi yonna ezukuukidde ku mawulire g’ennaku ag’okufa  kw’eyali omukulembeze w’eggwanga lya South Africa omudugavu eyasooka  Nelson Madiba Mandela.

Ku myaka  95 kwafiiridde Mandela  yakulembera eggwanga lya South Africa ekisanja kimu kyokka okuva mu 1994 okutuusa mu 1999.

Ekyewunyisa ono yali yakamala emyaka 27 mu kkomera wabula neyefiiriza obukulembeze mu nkola ya demokurasiya ewekimemente.

Ono Amaze  akabanga ku ndiri nga  atawanyizibwa obulwadde bwamawuggwe.

Bw’abadde alangirira okufa kw’omuzira w’ensi , omukulembeze w’eggwanga lya South Africa aliko kati  Jacob Zuma agambye nti tewali kubuusabusa Mandela ali mu mirembe kati.

Mu bigambo bye Zuma bwati:

“Eggwanga lifiiriddwa omutabani owebyafaayo, tubadde tukimanyi nti olunaku luno lulituuka  naye tekigyawo kunyolwa kwetulimu kati”.

Ye omukulembeze w’eggwanga lya Amerika kadugala Barak Hussein Obama ategeezezza nga bwali omu ku bukadde  bw’abantu mu nsi yonna abafunye ekyokulabirako okuva eri Mandela era alagidde bendera za Amerika zonna zikke  zewubire mu kitundu.

Ate mu ggwanga lya Tanzania  presidenti waayo Jakaya Kikwete alangiridde ennaku 3 ezokukungubaga nga nayo bendere z’eggwanga zakwewubira mu kitundu.

Bino by’ebitonotono ku byafaayo  by’omugezenzi Nelson Mandela

Mandela yazalibwa mu mwaka gwa 1918 wali mu  Eastern Cape

Mu 1943 yegatta ku kibiina ky’ebyobufuzi ekya  African National Congress

Mu 1956 Mandela yagulwako emisango gy’okulya munsi ye olukwe wabula oluvanyuma lwomusango guno okuwulirwa okumala emyaka 4 , yejeerezebwa.

Mu 1962 yaddamu nakwatibwa nagulwako emisango okuli okukuma omuliro mu bantu n’okuva mu ggwanga nga tarina Passipoti era yasibibwa emyaka 5.

Mu 1964  Mandela yasibibwa mayisa oluvanyuma lwabazungu abafuzi b’amatwale okumusingisa emisango egyenjawulo.

Wabula mu 1990 Mandela yayimbulwa okuva mu kkomera era mu 1994 nalondebwa nga omukulembeze w’eggwanga lya South Africa omudugavu eyasookera ddala.

 

Ekitali ku ba bakulembeze ba Africa abalala, Mandela yalekulira mu 1999 oluvanyuma lw’ekisanja kimu kyokka  mu bukulembeze.

Mu 2001 abasawo bakizula nti Mandela yalina ekirwadde kya kookolo era olw’obukosefu, mu 2004 yenenya obulamu bw’olukale nadda ewaka abeere n’abenyumba ye okutuusa lw’afudde.

Weeraba Mandela, ddala oli muzira.