Amawulire

Shamim Malende asimattuse abazigu

Shamim Malende asimattuse abazigu

Ivan Ssenabulya

October 21st, 2021

No comments

Omubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende nga ye munnamateeka wababaka Muhammad Ssegirinya ne Allan Ssewanyana asimattuse obulumbaganyi obubadde bumukoleddwako mu budde obwokumakya, nganatera okuyingira mu kibuga Masaka.

Malende abadde agenda ku kooti enkulu okuwuliriza omusango gwababaka bano mwebasabira okweyimirirwa.

Malende atubuliidde nti abasajja 3 babayimiridde nga benanise obukokolo nebakuba mmotoka nebagyasa endabirwamu, emipiira nebajijjamu omukka.

Malende agambye nti waddenga asimatttuse tanamanya kigendererwa kyabazigu bano

Poliisi e Masaka ebadde tenavaayo okunyonyola ku bulumbagnyi buno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *