Amawulire

Mabirizi yeyongeddeyo mu kooti kugwa Bugingo

Mabirizi yeyongeddeyo mu kooti kugwa Bugingo

Ivan Ssenabulya

January 17th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah

Munnamateeka Hassan Male Mabirizi addukidde mu kooti enkulu, okuwakanya ekya Ssabawaabi wa gavumenti okwediza omusango gwe gweyawawabira omusmba Aloysius Bujingo, mwamunenyeza okumenya etteeka lyobufumbo.

Mabirizi agamba nti nga 9 January 2022, wofiisi ya Ssabawaabi wa gavumenti yategeeza kooti ento Entebbe nti tebalina bwetaavu bwonna mu musango gwa Bujingo, wabua ate kyamwewunyisizza okufuna ebbaluwa nga bakubye enkyukira, bagala kwediza musango guno.

Omulamuzi wedaala erisooka Stella Okwang yali ayisizza ekiwandiiko ekiyita omuvunaanwa Aloysius Bujingo nagambibwa okubeera mukyala we omuto Susan Makula Nantaba, nga basubirwa mu kooti ku Lwokutaano lwa wiiki eno.

Kati mu musango omulala gwawaabye, Mabirizi awakanya ekya Ssabawaabi wa gavumenti okwediza omusango gwe.