Amawulire

Mabirizi bamuyise anyonyole lwaki tebamusiba

Mabirizi bamuyise anyonyole lwaki tebamusiba

Ivan Ssenabulya

February 11th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah

Kooti enkulu mu Kampala eyise munnamateeka Hassan Male Mabirizi, alabikeko okunyonyola lwaki tebamusiba mu kommera olwokujiyisaamu olugaayi.

Ekiwandiiko ekimuyita, kyatereddwako omukono omulamuzi Musa Ssekaana, nga yalagiddwa okweyanjula olwaleero ku ssaawa 9 ezolweggulo.

Ssabawolererezawa gavumenti yeyasa kooti, munnamateeka ono asibwe olwengeri gyatyobolamu kooti ngayita ku mitimbagano ku twitter handle ye neku mukutu gwa Facebook.

Kinajjukirwa nga 27 January 2022, omulamuzi Ssekaana yalagira Mabirizi okusasula engasi ya bukadde 300 olwokulumba essiga eddamuzi, bweyavuma omulamuzi Phillip Odoki.

Kyadirira omulamuzi Odoki okugoba okusaba kwa Mabirizi, mweyali ayagalira kooti ekome ku kitongole kya Capital Markets Authority, ngawakanya engeri gyebawa aba MTN olukusa oba IPO okutunda emigabo.

Ssabawolereza wa gavumenti yaddukira mu kooti naloopa, Mabirizi olwengeri gyeyali atyobolamu kooti nessiga eddamuzi.