Amawulire

Mabirizi ajulidde ng’awakanya okumusiba mu kkomera

Mabirizi ajulidde ng’awakanya okumusiba mu kkomera

Ivan Ssenabulya

February 16th, 2022

No comments

Bya Rutha Anderah

Omulamuzi wa kooti ejjulirwamu Christopher Madrama ataddewo olunnaku olwanga 22 February 2022, okuwuliriza omusango gwa munnamateeka Hassan Male Mabirizi ngawakanya ekiragiro kyomulamuzi wa kooti enkulu Musa Ssekaana okumusiba.

Olunnaku lweggulo, omulamuzi yalagidde nti Mabirizi akwatibwe akole obusibe okumala emyezi 18, olwokunyomoola kooti.

Wabula Mabirizi agamba nti omulamuzi Ssekaana, tayinza kubeera mulamuzi mu musango naye kennyini gwagambibwa nti gumukwatako.

Ssabawaabi wa gavumenti yeyaloopa Mabirizi eri omulamuzi Ssekaana, ng’amulumiriza okutyoboola kooti nga kigabibwa nti yavuma ngawakanya ennamula yomulamuzi Phillip Odoki.

Agamba nti ssi ye mulamuzi omutuufu, eyalina okuwuliriza omusango nga guno.