Amawulire

Maama wa Ssegirinya asabye gavumenti esonyiwe mutabani we

Maama wa Ssegirinya asabye gavumenti esonyiwe mutabani we

Ivan Ssenabulya

October 15th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Omubaka wa Kawempe North mu palamenti Muhammad Ssegirinya labiseeko mu maaso gomulamuzi wa kooti ya Buganda Road nayanukula ku misango emiralala egimuvunanaibwa egyokukuma omuliro mu bantu.

Segirinya alabikidde ku lutimbe mu kola eya Video Conferencing, ngansinziira mu kkomera ly’e Kigo gyali neyegaana eisango egimusomeddwa.

Omulamuzi Doreen Olga Karungi kati amuzizaayo ku alimanda okutukira ddala nga 29 Okitobba 2021 lwanakomezebwawo okusaba okweyimirirrwa ku musango guno.Omuwaabi wa gavumenti Judith Nyamwiza agambye nti omubaka Ssegiriinya yayita ku mukutu gwe ogwa Facebook “Ssegirinya Muhammad Fans page” nasasaanya obubaka obwali bukuma omuliro mu bantu, ngayogera ku kitta bantu kye Rwanga ekyomwaka 1994.Wabula gabadde maziga na biwoobe, Maama wa Segirinya Justine Nakajumba bwalabye embeera mutabani we gylimu.

Ono alajanidde gavumenti ya okusonyiwa mutabani we, kyonna kyeyasobya.

Omubaka Ssegirinya avunanibwa emisango emiralala egyobutmu, okugezaako okutta nobutujju, nga gyekuusa ku bijambiya ebibadde e Masaka.

Avunanibwa nomubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana.