Amawulire

Maama wa Ssegirinya addukidde mu kakiiko k’eddembe ly’obuntu

Maama wa Ssegirinya addukidde mu kakiiko k’eddembe ly’obuntu

Ivan Ssenabulya

December 10th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Maama womubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegirinya addukidde mu kakiiko akeddembe lyobuntu aka Uganda Human Rights Commission naloopa embeera mutabani we gyalimu.

Sanyu Nakajumba ngali ne kansala we Kawempe ku lukiiko lwekibuga Thomas Bagonza nomuyambi womubaka Ssegirinya Alex Luwemba bagala akakiiko kayingire mu nsonga, omuntu waabwe afune obujanjabi.

Bagamba nti Ssegirinya yafuna obuvune obukyamuliko nokutuusa olwaleero, bweyali addamu okukwatibwa oluvanyuma lwokumuyimbula ku kkomera e Kigo mu Sebutemba wa 2021.

Mu kwemulugunya kwebataddeyo, bagala akakiiko kesitule nga bakulembeddwamu ssentebbe waako Mariam Wangadya bakyalire Ssegirinya ku kkomera lya Murchison Bay berabireko ku mbeera gyalimu.