Amawulire

Maama asudde ebbujje mu Kabuyonjo, poliisi emuwenja

Ivan Ssenabulya

July 28th, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Ab’obuyinza mu tawuni kanso ye Ivukula ekisangibwa mu disitulikiti ye Namutumba batandise omuyigo ku maama atemera mu gyobukulu 25 kubigambibwa nti yasudde omwanawe omuwere mu kabuyonjo.

Ono mutuuze we Bwite B mu Ivukula Town council e Namutumba.

Ssentebe wékitundu owa LC3 Moses Batambuze,omukyala ono abadde abeera ne bazaddebe.

Ono agamba nti basoose kuwulira mwana akaabira mu kabuyonjo kwekugenda okulaba ogubadde, omwana yagiddwayo nga mulamu naddusibwa mu ddwaliro okufuna obujanjabi.

Ssentebe alabudde abawala okwewala okufuna mbutto ze batetegedde.