Amawulire

Maama akubye omwana we namutta

Maama akubye omwana we namutta

Ivan Ssenabulya

November 29th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi e Bulambuli eriko abafumbo begalidde, kigambibwa abakakanye ku muwala waabwe nebamukuba emiggo egikira egye nnyana, egyamuviriddeko okufa.

Bino byabadde ku kyalo Kikolo mu gombolola ye Namisuni, bwebakubye omwana owemyaka 12 naafa.

Omugenzi ye Neumbe Lofisa nga maama we, aliko weyamutumye okukima ssente ze emitwalo 4, wabula yakomyewo nga teziwera bweyakozesezaako nnusu 500 okugula ekindaazi ngenjalaemluma.

Okusinziira ku poliisi, omwana bamukubye emiggo, oluvanyuma nagwamu olumbe mu budde bwekiro nebamuddusa mu kalwaliro akokumpi gyafiridde.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Elgon Rogers Taitika akakaksizza okukwatibwa kwa maama Namataka Beatrice ne taata Woniala Kiboye, ngokunonyereza kwo kukyagenda mu maaso.