Amawulire

Maama agumbye ku poliisi

Ali Mivule

May 17th, 2017

No comments

 

Bya Damali Mukhaye

Waliwo omukazi agumbye ku poliisi ya Division ya Kira nga alumiriza bba okukkakana ku kato ke ak’emyaka 13 n’akasobyako.

Oliver Namutosi nga ali n’omwanawe ow’emyaka 5 wamu negwagamba nti baamusobyako balemedde ku poliisi eno okuva ku ssande okutuusa nga bayambiddwa.

Namutosi mutowe yamuggya ewaabwe e Tororo mu mwezi ogwokubiri n’amuleeta babeere bonna e Kampala nti agenda kumuweerera wabula ate n’amufuula mukozi w’awaka nga era mu kiseera kino kigambibwa okuba nti bba abadde kakazi kattu akasobyako.

Omusajja ono y’akwatibwa oluvanyuma n’ayimbulwa wabula nga omusajja buli kiseera abadde atiisatiisa omukyala ono kwekusalawo okuddukira ku poliisi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *