Amawulire

Luweero- abakulira poliisi bagobeddwa, Bukenya akaaye

Ali Mivule

May 6th, 2014

No comments

Brenda campaign

Poliisi ewummuzza abakulu ba poliisi e Luweero lwa mivuyo egyabaddeyo olunaku lwajjo.

Mu bawummuziddwa kuliko aduumira poliisi mu kitundu kya Savanna Richard Mivule n’aduumira poliisi ye Luweero Godfrey Ninsiima.

Aduumira poliisi Gen Kale Kaihura agamba nti kino kikoleddwa ng’okunonyereza ku bakulu bano bwekugenda mu maaso mu byavuddeko emivuyo.

Mu palamenti, Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Prof Gilbert Bukenya atabukidde aba gavumenti ng’agamba nti kati liddukanyizibwa poliisi.

Bukenya abadde mu palamenti ng’okukubaganya ebirowoozo ku byabadde e Luweero kugenda mu maaso.

Bukenya agamba nti poliisi yebadde teyeetaga kukozesa lyaanyi kubanga omukolo yagutegedde era ng’erina okuwa abawagizi ba DP obukuumi.

Ono yegattiddwaako ababaka Matia Nsubuga ne Nandala Mafaabi abasabye minisita okunyonyola lwaki yakoze kino

Wabula minista omubeezi akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga James Baba agambye nti bino tabimanyi kyokka nga wakwebuuza ku bantu be.

Sipiika amulagidde okuvaayo n’ekiwandiiko ekitongole ku lw’okuna .