Amawulire
Luwalira avumiridde empisa embi ezikopebwa
Bya Prossy Kisakye, Omulabirizi we Namirembe kitaffe mu katonda Wilberforce kityo Luwalira avumiridde empisa embi ezitandiise okukopebwa bannauganda n’okumokkola ebigambo ebitayisibwa mu kamya ebyongedde okwonoona abaana.
Luwalira abadde mu kusaako mikkono abaana ku kkanisa ya bakulisitaayo wali e kisaasi mu kawempe.
Abaana abasoba mu 100 bebateredwako emikono.
Omulabirizi luwalira akubiriza abazadde okukuliza abaana mu mpisa ennungi ne mu makubo ag’okutya katonda basobole okubeera ab’obuvunanyizibwa.