Amawulire

Lumbuye akyali Butuluki- Gavt eyogedde

Lumbuye akyali Butuluki- Gavt eyogedde

Ivan Ssenabulya

August 19th, 2021

No comments

Bya Ivan ssenabulya,

Gavumenti evudeyo netangaza ku mayitire ga kanyumiza ku mikutu egyómutimbagano Fred Kajubi Lumbuye.

Lumbuye yabuzibwawo ssabiiti 2 eziyise mu ggwanga erya Butuluki gyabadde abeera emyaka kati 8, abantu abenjawulo bazze basaba ayimbulwe nga balumiriza nti yagalirwa bweyatuka wano.

Wabula bwabadde ayogerako nábabaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akavunanyizibwa kunsonga za mawanga malala, minisita owensonga ze bweru, Jeje Odongo ategezeza nga Lumbuye bwakyali mu mikono gya bóbuyinza mu Butuluki

Wabula akakasiza ngénteseganya bwezigenda mu maaso Lumbuye akomezebwewo mu nsi ye avunanibwe

Ono okwogera bino nga minisita omubeezi owensonga ze bweru Okello Oryem, yegaana ebyokugamba nti Lumbuye yakomezebwawo bweyategeza ababaka ba palamenti nti bannamawulire tebawulira bulungi bigambo bye.