Amawulire

Lukwago yewozezzaako

Ali Mivule

June 27th, 2013

No comments

Lukwgao sad

Lord mayor wekibuga kampala kyadaaki yeewozezaako mu kakiiko akawulira okwemulugunya kwabakansala 17 abaagala okumujjamu obwesige.

 

Nga ayita mu banamateeka be aba Ludwig Advocates and Alaka Advocates, Lukwago akuuse ebaluwa nga yeegana ebyo byonna ebimwogetrwako nti byakumusibako matu gambuzi kumuliisa ngo.

Agamba ensonga zino ziri maaso ga palamenti era natageeza nga akakiiko kano bwekaliwo mungeri emenya amateeka era kamenya eteeka lya KCCA Act.

 

Lukwago ategeezezza nga emirimu gye bwagikola mu bweesimbu obwekitalo, era nga agikolera mumateeka.

Wano wasongedde mu baagala okumulemesa emirimu okuli bakansala abamu, minister wa kampala Frank Tumwebaze, nakulira ekibuga Jeniffer Musisis.

Wabula yadde yeewozezaako, Lukwago aweze obutalabikako maaso gakakiiko kano.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *