Amawulire

Lukwago mwenyamivu olwa KCCA obutalondoola bizimbe ebitali ku mutindo

Lukwago mwenyamivu olwa KCCA obutalondoola bizimbe ebitali ku mutindo

Ivan Ssenabulya

May 31st, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Loodimeeya wa Kampala Elias Lukwago mwenyamivu olwa badukanya ekitongole ekidukanya ekibuga Kampala, ekya KCCA okulemererwa okukangavula abazimba ebizimbe ebitali ku mutindo mu kibuga ekivaako okutendewalirwa ne biggwa ne bisanyawo obulamu bwantu.

Lukwago okwogera bino asinsindde ku City Hall mu kampala bwabadde awa okwogerakwe nga loodimeeya kunsonga ezigenda mu maaso mu kibuga kampala.

Ono alaze enyinke olwa bayinginiya abazimba ezimbe ebitali ku pulaani ya kibuga songa nómutindo gwa kibogwe kyokka ne balekebwa okuyinayina.

Lukwago mungeri yemu anenyeza abaddukanya ekitongole kya KCCA olwokwesulirayo ogwannagamba mu kulawuna ebizimbe ebizimbibwa mu kibuga ekintu ekyobulabe enyo eri bannakampala.

Asabye Nankulu wa KCCA Dorothy Kisaka okulongoosa ensonga eno.