Amawulire

Lukwago azzeeyo mu kooti

Ali Mivule

February 6th, 2014

No comments

Lukwago

Loodimeeya wa kampala Erias Lukwago azzeemu okuddukira mu kooti ku kiragiro ekyayisibw akooti nti adde mu ofiisi ye

Loodimeeya ayagala abantu bataano bayitibwe mu kooti nga bano abalumiriza okuba nti beebamulemesezza okudda mu ofiisi

Mu bano kwekuli akulira abakozi mu kampala Jenifer Musisi, akulira poliisi mu kampala, Felix Kaweesi,aduumira poliisi  Kale Kayihura,minista wa kampala  Frank Tumwebaze ne ssabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi.

Lukwago agambye nti bano bamenya mateeka era ayagala banyonyole lwak bagaanye okussa mu nkola ekiragiro ya kkooti