Amawulire

Lukwago ayambalidde Among ku by’oluguudo lwa BMK

Lukwago ayambalidde Among ku by’oluguudo lwa BMK

Ivan Ssenabulya

September 13th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Lord Mayor wa Kampala Erias Lukwago ayambalidde amyuka Sipiika wa palamenti Anita Among, olwokweyingiza mu mirimu gyekitongole kya KCCA.

Among yasinzidde mu kuziika omugenzi BMK olunnaku lweggulo nategeeza nga bwebagenda okuleeta ekiteeso mu palamenti ekibbula oluguudo mu BMK.

Yagambye nti oluguudo lwa Wampeewo Avenue okutudde Hotel Africana, bagenda kulujjulula okulubbulamu omugenzi okujjukira nokusiima emirimu gyakoledde egwanga.

Bulaimu Muwanga Kibirige, abadde musubuzi mugndiivu, nga ye nnayini wa Hotel Africana BMK ne BMK Group of Companies.

Wabula Lukwago ayise ku tweeter nagamba nti ebiteeso byamyuka Sipiiika wa palamnti birungi naye egyo mirimu gyalukiiko lwakibuga olwa KCCA ssi palamenti.

Kino kyekitandise okwogeza abantu ebigambo, ngabamu bawakanya ekyokujjawo erinnya Wampeewo ku luguudo olwo kubanga liriko ebyafaayo bya Kampala, songa waliwo enguudo ezabbulwa okuva mu mannya gabafuzi bamatwale nti zezandibadde zijibwawo.

Abalala bagammba nti bandizimbye eddwaliro oba ekifo ekifo ekirala nekibbulwamu omugenzi BMK, atenga abamu era basabye gavumenti esimenaga abantu nga bakyali balamu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *