Amawulire

Lukwago alagidde nanyini kizimbe ekyagudde akwatibwe

Lukwago alagidde nanyini kizimbe ekyagudde akwatibwe

Ivan Ssenabulya

September 6th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Lord Mayor wa Kampala Erias Lukwago alagidde nanyini kizimbe ekyagudde, mu Kisenyi Haruna Kiggundu, akwatibwe neba yinginiya bonna ababadde baikolako.

Ekizimbe kino, kibadde kikyazimbibwa wabula kyagudde mu nkuba eyabade etonnya olunnaku lweggulo, abantu 6 bebafudde atenga abalala 2 batasiddwa.

Kati Lukwago atuseeko ku kizimbe kino nagamba nti nannyini kyo avunanyizbwa kinene nnyo, ku njega eno nabakozi baa KCCA abalina okulondoola emirimu egyikolebw.

Okusinziira ku Lukwago, ebizimbe okugwa mu kibuga kyoleka emiwaatwa egiri mu ntekateeka yabakwasisa amateeka.

Lukwago alayidde nti agenda kulwanyisa obunanfuusi obwetobeka mu kuyisa pulaani zebizimbe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *