Amawulire

Lukwago agenze mu kakiiko-asoose kwezooba

Ali Mivule

July 22nd, 2013

No comments

 

Lukwgao sadWabaddewo akavuvungano ku Metropole house awatuula akakiiko akawulira okwemulugunya kwa ba kansala 17 abaagala okugya obwesige mu Lord Mayor Erias Lukwago.

 

Kino kivudde ku police kwagala kugaana abamu ku bawagizi ba Lukwago okuyingira munda awatuula akakiiko kano akalindirira okumusoya ebibuuzo ku bigambibwa nti emirimu gyimulemye.

 

Kino kiwalirizza Lord Mayor okusooka okufuluma okulaba ogubadde era nebategeregana ne police abawigizi be nebayingira.

Police yasoose kukuba mukka gubalagala mu bawagizi ba Lukwago abaabadde bamuwerekerako okuva ewaka okutuusa l’watuuse ku kizimbe kya Metroppole House awatuula akakiiko kano.