Amawulire

Leero lunaku lw’abakozi

Ali Mivule

May 1st, 2017

No comments

 

Olwaleero Uganda yagwegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’abakozi okujjukira ebyo ebituukiddwako abakozi mu nsi yonna.

Wano mu Uganda emikolo gyonna gyakutambulira ku mubala ogugamba nti okuzimba eggwanga mu kuyita mu mpisa enungi ezabakozi ku mulimu nga era emikolo gyakubeera ku kisaawe kye ssaza e Kamuge mu disitulikiti ye paliisa.

Minisita ombeezi ow’ekikula ky’abantu Peace Mutuuzo asoomozezza abakozi okukozesa olunaku luno okwekuba mu kifuba balabe engeri gyebayinza okutumbula empisa ku mirimu.

Mungeri yeemu bbo abakozesa basabiddwa  okulaba nga abakozi baabwe bakolera mu mbeera ennungi babayambe okwewakla obubenje.

Akulira ebyabakozi mu minisitule y’ekikula ky’abantu Martin Wandera agamba kino kiyamba abakozi wamu n’abakozesa.

Wandera agamba abakozi bambi basanye okukola emirimu gyabwe awatali kweralikirira bubenje .

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *