Amawulire
Landiloodi owa ttoonyi etalina mazzi bamwejjereezza
Bya Ruth Anderah
Namukadde owemyaka 50 awonye ekkomera, kooti bwemejjeereeza omusango gwokwefuula ekitagasa bweyawa omupangisa we nyumba erimu ttooyi yomunda, wabulanga teriimu mazzi.
Omuylamuzi we ddaal erisooka mu kooti ya City Hall Valerian Tuhimbise omusango guno gubadde guvunanibwa Betty Nalubega agugobye nti teguliimu nsa.
Oludda luwabi lubadde lugamba nti omuvunanwa omusango yaguzza nga June 6th 2019 e Mutungo-Biina 8 mu divison ye Nakawa.
Kino kyeyakola okuwa omupangisa kabini eyomunda ngamaziz tegakola, bagamba nti kyali kiteeka obulamu bwe mu kabi okukwaibwa ebirwadd ebiva ku buligo.