Amawulire

Lady Titie Afumbiddwa Akooye Obwomu

Ivan Ssenabulya

June 3rd, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omuyimbi Lady Titie Tendo Tabel  amanyiddwa nga Lady Titie ngono era mukozi ku CBS neku NBS akubye ebirayiro mu bufumbo olwaleero.

Ono kitegezeddwa nti agatiddwa mu bufumbo e Masaka, oluvanyuma lwamawulire agabadde gayitingana ngono bwabadde agenda okufumbirwa.

Amawulire agava e Masaka galaga nti ono afumbiddwa Tadeo Sserunjoji, omusubuzi we Kimanya, e Masaka nga batuuse ku kukukanya begobeko empewo yekiro.

Bino bibaddewo oluvanyuma lwebiwandiiko ebyafuluma, nebitimbibwa ku kitebbe kya district ye Masaka nga byatekebwako omukono gwa Juliet N. Mayanja akulira abakozi oba CAO wa district ye Masaka nga biranga obufumbo buno.

Kati Sserunjoji abasinga gwebayita sserurunji we Masaka kigambibwa Titie yamwanjula mu kimpukumpuku, mu mwezi ogwomunaana omwaka oguwedde.

Kinnajjukirwa Titie yayawukana ne Katongole Omutongole, omukozi ku Beat FM, bwebaali baludde mu bufumbo wabulanga kigambibwa obufumbo bwabwe bwali bwa nduulu.