Amawulire

Laddu esse abantu 2 nerumya abalala 4

Laddu esse abantu 2 nerumya abalala 4

Ivan Ssenabulya

September 22nd, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Laddu ekubye abasajja 2 nebatta, nerumya nabantu abalala 4 abenyumba emu.

Bino bibadde mu disitulikiti ye Kanungu, ngabagenzi kuliko Edidiya Turyayebwa owemyaka 42 ne Diyana Kajowa owa 31.

Bano bombi batuuze mu muluka gwe Kyamukende mu gombolola ye Kinaaba e Kanungu.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kigezi, Elly Maate agambye nti abalumiziddwa kuliko Flora Nyinakiiza owemyaka 40, nga yalumiziddwa nabaana be Susan Ayebazibwe owe 16, Friday Akandwanaho 5 ne Blessings Kirungi.

Bano babadde bagenze mu nnimiro.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *