Amawulire
Laddu esse abakazi 2 e Kamuli
Bya Abubaker Kirunda
Laddu ekubye abantu 2 nebatta, mu disitulikiti ye Kamuli.
Abagenzi kuliko omukazi ategerekse nga Nabirye owemyaka 22 nomulala Deborah owemyaka 24 nga babadde batuuze ku kyalo Bukutu mu gombolola ye Bulopa e Kamuli district.
Kansala wekitundu kino ku lukiiko lwa disitulikiti Moses Muwangala agambye nti binoi okuberawo, abagenzi babadde begamye nkuba.
Muwangala agambye nti abakyala bano, buli omu yabadde asitudde omwana wabulanga abaana, basimattusse.
Kitegerekese nti bano, babadde bawala ba Mutasa Moses, omutuuze mu kitundu kino.