Amawulire
Laddu ekubye 6 omu naafa
Bya Ivan Ssenabulya
Laddu ekubye abantu 6, omu nafirawo mu district ye Kapchorwa.
Bino bibadde ku kyalo Kapawanga mu gombolola ye Kapsinda.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Sipi Rogers Taitika agambye nti bino okubaawo, ngenkuba ettonnya.
Bano babadde baana mu myaka gyabwe emivubuka, era poliisi erabudde abazadde nomulanga bakuume nnyo abaana baabwe.