Amawulire

Kyagulanyi ayanukudde bannaKenya abamuneya

Kyagulanyi ayanukudde bannaKenya abamuneya

Ivan Ssenabulya

October 19th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Akulembera ekibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi asabye banne bwebavuganya gavumenti okubeera obum.

Bino webijidde nga wabaddewo okuvumagana ku mikutu muyunga bantu, wakati wabawagizi ba NUP naba Dr Kiza Besigye eyakoze ekisinde ekigenda okujjako gavumenti ngokulonda kwa 2026 tekunatuuka ekya Peoples Front for Transition.

Bano babadde belumiriza obunanfuusi, nga bayombera ekifo kyokulembera abavuganya gavumenti.

Kati kyagulanyi amanyidwa nga Bobi Wine abadde ku NTV nagamba nti okwesojja kuswaza mu bantu bebakulembera.

Kino aabye kikome, kubanga agambye nti omukulembeze wegwanga yakifunamu.

Besigye eyakavuganya ku bukulembeze bwegwanga emirundi 4, munna FDC wiiki ewedde yavuddeyo nasaba Bobi Wine amwetondere mu lujudde, olwebivumo ebibadde biva mu bawagizi be.

Mungeri yeemu Kyagulanyi avuddeyo okwogera, oluvanyuma lwabannaKenya ku mitimbagano ababadde bamunenya olwokukunga obwagizi eri omubaka wa Embakasi East Babu Owino.

Banna-Kenya ku twitter bagamba nti omubaka ono, mumenyi wamateeka eyetaba mu kulwanagana mu bbaala wabulanga kati nate avuganya addemu okulondebwa mu kulonda kwa bonna mu 2022.

Kyagulanyi bweyabadde mu Kenya mu gandaalo erya sabiiti yakunze abantu balonde Owino, nga yamwogeddeko nti mulwanirizi waddembe.

Wabula agambye nti Babu Owino yakyusibwa wewaawo ngabakulembeze era batekeddwa okuvunayizbwa ku bikolwa byabwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *