Amawulire

Kooti ya Buganda Road eyimbudde Kakwenza

Kooti ya Buganda Road eyimbudde Kakwenza

Ivan Ssenabulya

January 25th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah

Omuwandiisi Kakwenza Rukira Bashaija ayimbuddwa kooti ya Buganda Road, omulamuzi Dr. Darglas Singiza.

Amuyimbudde ku kakalu ka mitwalo 50 ez’obuliwo nabamweyimiridde, buli omu obukadde 10 ezitali za buliwo.

Bamulagidde aweeyo passporta ye ngegenda kukwatibwa okumala emyezi 6, era enjuuyi zombie ziragiddwa obutaddemu kwogera ku musango guno mu mawulire, bwekitaabe ekyo, okuyimbulwa kwe kujja kusazibwamu.

Mu biralala, kooti eragidde oludda oluwaabi okutekamu obwangu, banonyereze ku misango egivunanibwa Kakwenza, bakufundikire wiiki eno.

Balagiddwa okutekayo obujulizi bwabwe obutasukka nga 31 January 31 2022, okuwulira omusango kusobole okutandika nga 1 February 2022.

Kakwenza avunanibwa okunyiiza mutabani womukulembeze wegwanga, era omuddumizi wamagye agoku ttaka Lt. Gen Muhoozi Kainerugaba.

oludda oluwaabi lugamba nti emisango yagizza wakati wanga 24 ne 28 Decemba 2021, nga bweyawandiika ebikaawa ngasinziira ku mukutu gwe ogwa twitter.