Amawulire
Kooti eyise Nantaba ku by’okutta Ssebulime
Bya Ivan Ssenabulya
Kooti ento e Mukono eyise minisita omubeezi owebyuma bi kalimagezi, nga ye mubaka omukyala owa district ye Kayunga Aidah Eliodah Nantaba n’abasirikale ba poliisi 3 balabikeko ku misango gyobutemu n’okuwa poliisi amawulire
agobulimba.
Okusinzira ku kiwandiiko ekitereddwako gwomulamuzi Juliet Hataga Nantaba nabasirikale, Opira Ronald, Ronald Baganza ne Edward Cherotich batekeddwa aokujja amu kooti nga 15/7/2019.
Kino kyadiridde aba famile yomugenzi Ronald Ssebulime nga bakulembeddwamu mwanyina Sylivia Nakayita, okuwawabira minister, nga balumiriza nti yalaina omukono mu kufa kw’omuntu waabwe.
Omugenzi yakaubibwa amasasi agamutta, abasirikale bwebamutebereza nti yalai alaondoola minister, oba oli awo okumutuisaako obulabe.