Amawulire
Kooti eyagala kitabo ekyabatuuze be Lusanja
Bya Ruth Anderah
Kooti enkulu mu Kampala eragidde omuwandiisi we kyalo Mpererwe Sekanyonyi Zone, Mercy Nakibuuka okuleeta ekitabo ekiraga abatuuze, abadde mu kitundu ekyo mu bbanga ere myaka 4.
Ekiragiro kino kiyisiddwa omulamuzi Tadeo Asiimwe, oluvanyuma lwobujulizi bwa ssentebbe we kyalo Henry Ssejjemba, okulaga nti omugagga Medard Kiconco, weyagulira ettaka lye Lusanja mu 2013 kwaliko abatuuze 18 bokka.
Ssentebbe yagambye nti bangi ku bantu abawawabira Kiconco ssi batuuze mu LC ye.
Kati omuwandiisi Alaina okulaga abatuuze okuva amu mwaka gwa 2015, 2016, 2017 ne 2018.
Omusango guno gwayongezeddwayo okutukira ddala ng July, 29th, lwegunaddamu okuwulirwa.