Amawulire

Kooti eragidde ab’ekkomera ly’eKigo okuleeta Ssegiriinya ku Buganda Road

Kooti eragidde ab’ekkomera ly’eKigo okuleeta Ssegiriinya ku Buganda Road

Ivan Ssenabulya

October 14th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Omulamuzi wa kooti ya Buganda Road alagidde abatwala ekkomera lye Kigo okuleeta omubaka wa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya mu kooti olunnaku lwenkya.

Ekiragiro kino kiyisiddwa omulamuzi Doreen Karungi, ng Ssegirinya atekeddwa okulabikako okuwuliriza emisango gye, egyokukuma omuliro mu bantu.

Ssegirinya avunanibwa emisango emirala, egyobutemu, obutujju nokugezaako okutta nga giri mu kooti ye Masaka era gyegikyamugalizza mu nkomyo.

Ono avunanibwa nomubaka wa Makindye West Allan Ssewanyana nga babasindika ku alimanda okutukira ddala nga 27 Okitobba 2021.

Oludda oluwaabi lugamba nti Ssegirinya yayita ku mukugu gwe ogwa Facebook ku “Ssegirinya Muhammad Fans page” nakuma omuliri mu bantu ngasimbiliza obubaka bwe ku kitta bantu ekyali e Rwanda mu mwaka gwa 1994.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *