Amawulire

Kooti enkulu egaanye okugoba omusango gw’okuvvunula Ssemateeka

Kooti enkulu egaanye okugoba omusango gw’okuvvunula Ssemateeka

Ivan Ssenabulya

January 13th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah

Kooti enkulu mu Kampala ekirizza bannamateeka 2, nti bagende mu maaso nomusango gwabwe gwebawawabira gavumenti olwokulemererwa okukyusa ssemateeka wegwanga owa 1995, okudda mu nnimi ennansi.

Omulamuzi Boniface Wamala yeyakoze ennamula eno, bweyagobye okusaba kwa gavumenti ababadde bagala okuwuliriza omusango guno obutagenda mu maaso.

Ssabawolereza wa gavumenti ensonga zabadde awa, nti omusango gwawaabwa wakyamu, gwalina kugenda mu kooti etaputa ssemateeka.

Mu mwaka gwa 2019, bannamateeka Michael Aboneka ne Martins Kirya bawawabira gavumenti, olw’okulemererwa omulimu gwayo, okukyusa ssemateeka okumuzza mu nnimi ennansi 56.

Webawabira omusango guno, nga wayise emyaka 20 okuva ssemateeka wegwanga lweyalangirirwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *