Amawulire

Kooti ekakasizza okulondebwa kwa Ssegirinya bwegobye omusango

Kooti ekakasizza okulondebwa kwa Ssegirinya bwegobye omusango

Ivan Ssenabulya

September 7th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Kooti enkulu mu Kampala egobye omusango ogubadde gwawaabwa nga guwakanya okulondebwa kwomubaka wa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya.

Omulamuzi abadde mu musango guno Hennerieta Wolayo alamudde nti eyawaaba Sulaiman Kidandala yalemererewa ddala okutuusa empaaba ye eri Ssegirinya nga bwekirambikiddwa mu mateeka, mu kkomera gyeyali e Kitalya.

Okusinziira ku mulamuzi Wolayo eyawaaba Kidandala yava ku biragiro bya kooti, okutwala empaaba ye okuyita mu akulira ekkomera lye Kitalya Fred Mugia, era eyalina okuteekako omukono kulwomusibe Ssegirinya gweyalina mu kadde ako, ate yye nalemera ku kyokumutwalira empaaba mu buntu namaliriza ngalemereddw aokumulaba.

Omulamuzi kino akyesigamizza ku Mugia, yennyini eyategeeza kooti nga yegaana okuteeka omukono ku mpaaba eyamutwalirwa, akelnga omusango gwasigala nga tegukyakola makulu.

Kati Ssegirinya okulondebwa bwe kukakasiddwa.

Ssegirinya yawangulira ku bululu emitwalo 4 mu 1,197 atenga Kidandala yafuna 7,212.